Omuwendo gw’abantu abakafiira mu kabenje akaagudde mu district y’e Lwengo gutuuse ku bantu 11. Akabenje kano kaaguddewo mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa nga musanvu nga bbaasi ya kampuni ya Kasaba etomereganye ne Tata. Poliisi etubuulidde nti abantu abasoba mu 30 bavuddewo n’ebisago kubanga bbaasi yefudde oluvannyumma lw’okutomeragana ne Loole.
The post AKABENJE E LWENGO: Bbaasi etomedde loole, abantu 11 bafudde, 30 bali ku bisago first appeared on NTV Uganda.
