Omukulembeze Yoweri Museveni abuulidde ababaka ba Palamenti banna NRM bakungaanidde mu lusirika lw’ekibiina e Kyankwazi nti ababaka abasatu abaali bagguddwako ogwobuli bwenguzi baasonyiyibwa oluvanyuma lw’olwetonda. Ono abadde ayogera ku babaka okuli Cissy Namujju, Paul Kamba ne Yusufu Mutembuli nga bano baavunaanwa ogw’okugezaako okujja ensimbi ku akulira akakiiiko akalera eddembe lyobuntu Mariam Wangadya nga bamusuubiza okumulwanirira ensimbi eziweebwa akakiiko kaakulira zongerweko, kyoka oluvanyuma omuwaabi w’emisango gya gavumenti ebyokubavunaana nabijjamu enta. Bino Pulezidenti abyogedde aggulawo olusirika olugenda okumala ennaku omwenda nga luyinda.
The post OLUSIRIKA LWA NRM: Pulezidenti Museveni aluguddewo mu butongole first appeared on NTV Uganda.
