Eyali minisita omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja era omubaka omukyala ow’e Bududa Agnes Nandutu obudde bumuddugalidde kkooti evunaana abakenuzi bw’ekamutemye nti omusango gw’okubba amabaati g’abawejjere b’e Karamojja bwe mugusse mu vvi. Amawulire gano agatawooma Nandutu gamukubiddwa omulamuzi Jane Okuo Kajuga era nga kati ono n’akakalu ka kkooti akamuweebwa kasaziddwamu n’akwatibwa. Ku Lwokutaano luno lw’asuubirwa okumanya ekibonerezo ekigenda okumuweebwa olw’ekikolwa kino.
The post Agnes Nandutu omusango ogw’okubba amabaati g’e Karamoja gumusse mu vvi first appeared on NTV Uganda.
